Psalms 28

Zabbuli ya Dawudi.

1 aNkukoowoola ggwe, Ayi Mukama, Olwazi lwange,
tolema kumpuliriza;
kubanga bw’onoonsiriikirira
nzija kuba nga bali abakkirira mu kinnya.
2 bOwulire eddoboozi ery’okwegayirira kwange,
nga mpanise emikono gyange
okwolekera ekifo kyo ekisinga byonna obutukuvu,
nga nkukaabirira okunnyamba.

3 cTontwalira mu boonoonyi,
abakola ebibi;
abanyumya obulungi ne bannaabwe,
so ng’emitima gyabwe gijjudde bukyayi bwerere.
4 dBasasule ng’ebikolwa byabwe bwe biri,
n’olw’ebyambyone bye bakoze.
Basasule olwa byonna emikono gyabwe gye bisobezza,
obabonereze nga bwe basaanidde.

5 eOlwokubanga tebafaayo ku mirimu gya Mukama,
oba ku ebyo bye yakola n’emikono gye,
alibazikiririza ddala,
era talibaddiramu.

6Atenderezebwe Mukama,
kubanga awulidde eddoboozi ly’okwegayirira kwange.
7 f Mukama ge maanyi gange,
era ye ngabo yange, ye gwe neesiga.
Bwe ntyo ne nyambibwa.
Omutima gwange gunaajaguzanga, ne mmuyimbira ennyimba ez’okumwebazanga.

8 g Mukama y’awa abantu be amaanyi,
era kye kiddukiro eky’obulokozi bw’oyo gwe yafukako amafuta.
9 hOlokole abantu bo, obawe omukisa abalonde bo.
Obakulemberenga ng’omusumba, era obawanirirenga emirembe gyonna.
Copyright information for LugEEEE